Yagamba [Allah] owa waggulu: {Omuntu akola obulungi, k’abe musajja oba mukazi, nga naye mukkiriza, tugenda kumuwangaliza ddala mu bulamu obulungi era tugenda kubasasulira ddala empeera yaabwe (ku nkomerero) nga baweebwa ekisinga obulungi ku lw’ebyo bye baakolanga.} [Al-Nahli: 97].
Mu bisinga okuyingiza essanyu n’obwanjulukufu n’okwesiima mu mutima gw’omusiraamu; kwekuyungagana okutereevu (direct contact) n’Omulezi we awatali kayungirizi mu balamu, yadde abafu, oba amasanamu. Era Allah owa waggulu yagamba mu kitabo kye eky’ekitiibwa nti mazima yye ali kumpi n’abaddu be lubeerera, abawulira era n’ayanukula okusaba kwabwe, nga bweyagamba [Allah] eyayawukana: {Abaddu bange bwe baba bakumbuuzizzaako [bagambe nti] mazima ndi kumpi [nnyo nabo], nnyanukula okusaba kw’omusabi wonna wansabira. Wabula bateekwa bannyanukule (nga bagondera amateeka gange) era banzikirize balyoke batuuke ku bulungamu} [Baqara: 186].
Era yatulagira [Allah] eyayawukana okumusaba, era n’afuula ensonga eyo [ey’okumusaba] nga kimu ku nsiinza enkulu ezo omusiraamu z’asembera nazo eri omulezi we, nga bweyagamba [Allah] ow’amaanyi era ow’ekitiibwa: {era omulezi wammwe yagamba: Munsabe nja kubaanukula}[Ghaafir: 60].
Kale omusiraamu omulongoofu lubeerera aba mwetaavu eri omulezi we, era lubeerera aba ateeka okusaba kwe mu maaso ge, era abeera asembera gyali n’okusinza okulungi.
Era Allah owa waggulu yatuteeka mu nsi muno lwa kigendererwa ekikulu, era teyatutonda awatali mulamwa; era kyekyokumusinza yekka awatali kumugattako, era naatuteerawo eddiini ey’obwakatonda enzijuvu eteekateeka ensonga z’obulamu bwaffe zonna ez’obwa ssekinnoomu n’ezaawamu, era naakuuma ne ssemateeka ono omwenkanya ebiteebeereka by’obulamu, era nga nabyo yeddiini yaffe, n’emyoyo gyaffe, n’ebitiibwa byaffe, n’amagezi gaffe, n’emmaali yaffe, era yenna awangaala nga agoberera amateeka g’eddiini, nga yeewala ebyaziyizibwa, abeera akuumye ebiteebeereka bino, era awangaala musiimu nga mutebenkevu mu bulamu bwe awatali kubuusabuusa.
Okuyungagana kw’omusiraamu n’Omulezi we kwa munda nyo! Kuleeta obutebenkevu n’emirembe mu mwoyo, n’okuwulira obukkakkamu n’obukuumi n’essanyu, n’okuwulira (feeling) okubaawo kw’omulezi eyayitirira ekitiibwa, n’okufaayo kwe n’omukwano gwe eri omuddu we omukkiriza, yagamba [Allah] owa waggulu: {Katonda Ye Nnannyini kweyimirira nsonga z’abakkiriza era Ye mudduukirize waabwe! Abaggya mu bizikiza n’abatwala mukitangaala} [Al-Baqara: 257].
Okuyungagana kuno okw’amaanyi, mbeera ekwata mu mwoyo ereetera omuntu okunyumirwa okusinza omusaasizi [Allah], n’okuyaayaanira okumusisinkana, era n’esitula omutima gwe ppaka mu ggulu ly’okwesiima, ng’awulira obuwoomerevu bw’obukkiriza.
Obuwoomerevu obwo obutasobola kunnyonyolwa buwoomi bwabwo okuggyako oyo eyabukombako nga akola emirimu emirungi n’okwewala ebikyamu, kyekyo lwaki nnabbi Muhammad okusaasira n’emirembe bibeere ku yye agamba: (akombye ku buwoomu bw’obukkiriza oyo eyasiima Allah okuba omulezi [we], n’Obusiraamu okuba eddiini [ye], ne Muhammad okuba omubaka [we]).
Ddala omuntu bwawulira okubeera kwe olubeerera mu maaso g’omutonzi we, n’amumanya n’amannya ge n’ebitendo bye ebirungi, era n’amusinza nga ali nga amulaba, era n’aluubirira [kusiima kwa] Allah mu kusinza kwe, era naatanoonya mu kusinza kwe kitali Allah eyayitirira ekitiibwa, awangaala obulamu obulungi obw’essanyu ku nsi, n’okufundikira okulungi ku nkomerero.
Gw’ate n’ebizibu ebituuka ku mukkiriza mu nsi, era mazima olubabu lwabyo luvaawo n’obunnyogovu bw’okukakasa [Allah], n’okusiima okugera kwa Allah owa waggulu, n’okumutendereza ku buli kugera kwe kwonna, okulungi kwakwo n’okubi kwakwo, era n’okusiima okujjuvu ku kwo.
Era mwebyo omusiraamu byasaanye okussaako essira, okwesiima kwe n’obutebenkevu bwe byeyongere obungi, kwekwogera kwe ennyo ku Allah owa waggulu, n’okusoma kwe Kulaani ey’ekitiibwa, nga bweyagamba [Allah] owa waggulu: {Abo abakkiriza era nga gifuna obutebenkevu emitima gyabwe olw’okwogera ku Katonda. Abange mazima ku lw’okwogera ku katonda emitima gitebenkera} [Al-Ra’ad: 28].
Era omusiraamu buli okwogera kwe ku Allah bwe kweyongera, n’okusoma kwe Kulaani, okuyungagana kwe ne Allah owa waggulu kweyongera, omwoyo gwe negutukula, n’obukkiriza bwe ne buba bwamaanyi.
Nabwekityo kigwana omusiraamu okufaayo okuyiga ensonga z’eddiini ye okuva mu nsibuko entuufu; asobole okusinza Allah owa waggulu nga asinziira ku kumanya, kubanga yagamba nnabbi okusaasira n’emirembe bibeere ku yye: (okunoonya okumanya kyatteeka ku buli musiraamu),
era abeere nga yeewaayo era nga agoberera amateeka ga Allah owa waggulu oyo eyamutonda, ssi nsonga ategedde ekigendererwa mugo oba tategedde, kubanga yagamba [Allah] owa waggulu mu kitabo kye eky’ekitiibwa: {Era tekigwana eri omukkiriza omwami wadde omukkiriza omukyala bw’Aba nga Katonda n’omubaka we basazeewo ensonga yonna, okubeera ne babanga bbo ate basiimayo ekirala eky’okukola mu nsonga zabwe [ekitali katonda n’omubaka we kye basazeewo]. Era oyo ajeemera Katonda n’omubaka we mazima aba abuze olubula olweyolefu} [Ahzaab: 36].
Era okusaasira n’emirembe bibeere ku nnabbi Muhammad, ne ku bantu b’ennyumba ye ne ba ‘Sswahaaba’ be bonna.